MUNSONYIWE! Kazoora asindikiddwa mu kkomera e Luzira.

David Kazoora (J Kazoora) eyali omukozi wa WBS ttivvi yasindikiddwa mu kkomera e Luzira yeebakeyo emyezi 6 lwa kulyazamaanya ssente za bbanka obukadde 53 obwa Uganda.

Kazoora yakwatiddwa bawannyondo ba kkooti mu Kampala aba Tuskem Associates nga balina ekiragiro kya kkooti, okuva e Lugogo By pass ne bamutwala butereevu ku kkooti Enkulu mu Kampala mu maaso g’omulamuzi Deo Nizeimana.

Kazoora bwe yatusiddwa ew’omulamuzi Nizeimana ssente obukadde 53 ze yeewola mu Bank ya United Bank for Africa (UBA) mu 2015 yabadde tazirina ate nga tasasulangako, ekyawalirizza omulamuzi okulagira atwalibwe e Luzira.

Leave a Comment